Psalms 13

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1 aOlinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
2 bOkulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

3 cOnnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
onzizeemu amaanyi nneme okufa.
4 dSi kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

5 eNaye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
6 fNnaayimbiranga Mukama,
kubanga ankoledde ebirungi.
Copyright information for LugEEEE